Ensonga Lyrics – Carol Nantongo ft. Kabuye Sembogga

Taata wange omulungi
Nebwoloba ndudde, mbadde ninda kirungi
Sso ssi bingi
Nedda ssi siringi
Wabula omuntu
Anampeesa ekitiibwa mu bantu
Nzudde omuntu
Buli kimu ku ye kindabikira bulungi
Sigamba, nti ali perfect
Naye eeh, ali decent
Wano recently
Yaŋambye mmuleete immediately
Daddy nteesa
Omwana ono, mufuule wuwo
Mufuule wuwo ooh (eeh)
Carol bwoba bw’ogambye
Era nga bw’osiimye, yanja ensonga

Nsonga za love daddy (anha)
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Muzudde, muzudde (otyo)
Sirimba omwana anfuukidde ensonga
Genda naye oba ng’omusiimye
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Genda naye sirabyewo kikyamu
Sirimba omwana anfuukidde ensonga

Gye bisookera nga mwakeeraba
Mu mukwano omungi
Nga buli omu aweeka ne ku munne, eeh
We buzibira, ate mwevuma lwaki, lwaki?
Ebyo byonna mubirinde
Mwekwase Mukama tewali kirema
Teri mugga guwalampa lusozi
Naye omwana oyo
Nze gw’olaba antambuliza ku ntoli, eh!
Bulinga obutaakye, tebuwungeere
Nze byonna sisigazza mbimukwasizza

Nsonga za love daddy (anha)
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Muzudde, muzudde (otyo)
Sirimba omwana anfuukidde ensonga
Genda naye oba ng’omusiimye
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Genda naye sirabyewo kikyamu
Sirimba omwana anfuukidde ensonga

Brian Beats

Muli neebuuza
Bakola batya abaakunoza?
Ne babeera nga beekuuma
From Monday to Sunday!
Girl, omukwano kulinda nnyo
Era kugezaako
Nali mmanyi omukwano kunyiga ppeesa
Leero bakusuuta nnyo n’okola ekyejo
Kyokka enkya ne bikyuka
N’ovuma nti embwa eyo!
Mwana wange
Ebintu by’omukwano ggyamu amalala
Fuba nnyo obe ng’eryenvu
Obufumbo makoona
Bukunyumira ogonze

Nsonga za love daddy (anha)
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Muzudde, muzudde (otyo)
Sirimba omwana anfuukidde ensonga
Genda naye oba ng’omusiimye
Nafunye omwana anfuukidde ensonga
Genda naye sirabyewo kikyamu
Sirimba omwana anfuukidde ensonga